Menu

Zabbuli 14

BIB

1 Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

2 Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ng’asinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda.

3 Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri n’omu.

4 Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga? Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere; so tebakoowoola Mukama.

5 Balitya nnyo! Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.

6 Mulemesa entegeka z’omwavu, songa Mukama kye kiddukiro kye.

7 Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni! Mukama bw’alirokola abantu be, Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate