Menu

Zabbuli 15

BIB

1 Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo? Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

2 Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.

3 Olulimi lwe talwogeza bya bulimba, era mikwano gye tagiyisa bubi, so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.

4 Anyooma ababi, naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Atuukiriza ky’asuubiza ne bwe kiba nga kimulumya.

5 Bw’awola tasaba magoba; so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate