Menu

Zabbuli 13

BIB

1 Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna? Olikomya ddi okunkweka amaaso go?

2 Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

3 Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange; onzizeemu amaanyi nneme okufa.

4 Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;” abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

5 Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.

6 Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate