Menu

Zabbuli 130

BIB

1 Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.

2 Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

3 Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go?

4 Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

5 Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye.

6 Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

7 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde.

8 Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya mu byonoono bye byonna.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate