Menu

Zabbuli 129

BIB

1 Isirayiri ayogere nti, “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”

2 Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange; naye tebampangudde.

3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,

4 kyokka Mukama mutuukirivu; amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

5 Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe era bazzibweyo emabega nga baswadde.

6 Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba , oguwotoka nga tegunnakula.

7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.

8 Wadde abayitawo baleme kwogera nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe. Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate