Menu

Zabbuli 128

BIB

1 Balina omukisa abatya Katonda; era abatambulira mu makubo ge.

2 Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.

3 Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.

4 Bw’atyo bw’aweebwa emikisa omuntu atya Mukama.

5 Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni, era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi ennaku zonna ez’obulamu bwo.

6 Owangaale olabe abaana b’abaana bo! Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate