Menu

Zabbuli 127

BIB

1 Mukama bw’atazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bw’atakuuma kibuga, abakuumi bateganira bwereere.

2 Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola, ate n’olwawo n’okwebaka ng’okolerera ekyokulya; kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

3 Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama; era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.

4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi, n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.

5 Alina omukisa omuntu oyo ajjuzza ensawo ye n’obusaale, kubanga tebaliswazibwa; balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate