Menu

Zabbuli 124

BIB

1 Isirayiri agamba nti, singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,

2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe abalabe baffe bwe baatulumba,

3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera, obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.

4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo, ne mukoka n’atukulukutirako;

5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira ganditukuluggusizza.

6 Mukama atenderezebwe atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.

7 Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva ku mutego gw’abatezi; omutego gukutuse, naffe tuwonye!

8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, eyakola eggulu n’ensi.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate