Menu

Zabbuli 123

BIB

1 Nnyimusa amaaso gange gy’oli, Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.

2 Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe; n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we , n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, okutuusa lw’alitusaasira.

3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire, kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.

4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala, n’okunyoomebwa ab’amalala.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate