Menu

Zabbuli 125

BIB

1 Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.

2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be, okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.

3 Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira mu nsi y’abatuukirivu, baleme okuwaliriza abatuukirivu okukola ebibi.

4 Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu bakolere ebirungi.

5 Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibe ku Isirayiri.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate