Menu

Zabbuli 122

BIB

1 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”

2 Ebigere byaffe biyimiridde mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.

4 Eyo ebika byonna gye biraga, ebika bya Mukama, okutendereza erinnya lya Mukama ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.

5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa; z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe: “Abo abakwagala bafune ebirungi.

7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo; n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”

8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”

9 Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate