Menu

Zabbuli 121

BIB

1 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa?

2 Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi.

3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga.

4 Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga.

5 Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;

6 emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro.

7 Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo.

8 Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate