Menu

Zabbuli 120

BIB

1 Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, era n’annyanukula.

2 Omponye, Ayi Mukama, emimwa egy’obulimba, n’olulimi olw’obukuusa.

3 Onooweebwa ki, era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?

4 Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira, n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.

5 Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki; nsula mu weema za Kedali!

6 Ndudde nnyo mu bantu abakyawa eddembe.

7 Nze njagala mirembe, naye bwe njogera bo baagala ntalo.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate