Menu

Zabbuli 113

BIB

1 Mutendereze Mukama! Mumutendereze, mmwe abaweereza be, mutendereze erinnya lya Mukama.

2 Erinnya lya Mukama litenderezebwe okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

3 Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

4 Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna, era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.

5 Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,

6 ne yeetoowaza okutunuulira eggulu n’ensi?

7 Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu; n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,

8 n’abatuuza wamu n’abalangira, awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.

9 Omukazi omugumba amuwa abaana, n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu. Mutendereze Mukama!

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate