Menu

Zabbuli 112

BIB

1 Mutendereze Mukama! Alina omukisa omuntu atya Katonda, era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi; omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.

3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi; era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.

4 Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu, alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.

5 Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba, era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.

6 Omutuukirivu talinyeenyezebwa, era anajjukirwanga ennaku zonna.

7 Amawulire amabi tegaamutiisenga, kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.

8 Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga, era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.

9 Agabidde abaavu bye beetaaga; mutuukirivu ebbanga lyonna; era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

10 Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala, n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola. Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate