Menu

Zabbuli 114

BIB

1 Isirayiri bwe yava mu Misiri, abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;

2 Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

3 Ennyanja bwe yabalaba n’edduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega.

4 Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume, n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

5 Ggwe ennyanja, lwaki wadduka? Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?

6 Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume, nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

7 Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo,

8 eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi, n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate