Menu

Zabbuli 138

BIB

1 Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.

2 Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.

3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula; n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

4 Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama, nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.

5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama; kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

6 Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.

7 Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu, naye ggwe okuuma obulamu bwange; ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe, era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.

8 Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde; kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna. Tolekulira ebyo bye watonda.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate