Menu

Zabbuli 137

BIB

1 Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni, ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.

2 Ne tuwanika ennanga zaffe ku miti egyali awo.

3 Abaatunyaga ne batulagira okuyimba, abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka; nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama mu nsi eteri yaffe?

5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, omukono gwange ogwa ddyo gukale!

6 Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange singa nkwerabira, ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako okusinga ebintu ebirala byonna.

7 Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola, ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa; ne baleekaana nti, “Kisuule, kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”

8 Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa, yeesiimye oyo alikusasula ebyo nga naawe bye watukola.

9 Yeesiimye oyo aliddira abaana bo n’ababetentera ku lwazi.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate