Menu

Zabbuli 98

BIB

1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze eby’ekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.

2 Mukama ayolesezza obulokozi bwe, era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.

3 Ajjukidde okwagala kwe okutakoma n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri. Enkomerero z’ensi yonna zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.

4 Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna; muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.

5 Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba; n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,

6 n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe. Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

7 Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu, n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.

8 Emigga gikube mu ngalo n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;

9 byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate