Menu

Zabbuli 95

BIB

1 Mujje tuyimbire Mukama; tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.

2 Tujje mu maaso ge n’okwebaza; tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

3 Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.

4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe; n’entikko z’ensozi nazo zize.

5 Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola; n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

6 Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.

7 Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye, era tuli ndiga ze z’alabirira. Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,

8 “Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba , ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;

9 bajjajjammwe gye bangezesa; newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.

10 Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana; ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, era tebamanyi makubo gange.’

11 Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate