Menu

Zabbuli 87

BIB

1 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.

2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

3 Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako, ggwe ekibuga kya Katonda.

4 “Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”

5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.

6 Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati, omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

7 Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate