Menu

Zabbuli 76

BIB

1 Katonda amanyiddwa mu Yuda; erinnya lye kkulu mu Isirayiri.

2 Eweema ye eri mu Yerusaalemi; era abeera mu Sayuuni.

3 Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza; n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

4 Owa ekitangaala, oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.

5 Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa, beebaka ne batasobola kugolokoka, ne watabaawo n’omu asobola okuyimusa omukono gwe.

6 Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

7 Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga. Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?

8 Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu, ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,

9 bw’ogolokoka okusala omusango, okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.

10 Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa, n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.

11 Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga; bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo, kubanga asaanidde okutiibwa.

12 Mukama akkakkanya abalangira, ne bakabaka b’ensi bamutya.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate