Menu

Zabbuli 70

BIB

1 Ayi Katonda oyanguwa okundokole. Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.

2 Abo abannoonya okunzita batabulwetabulwe; abo abannoonya okunzikiriza, bagobebwe nga baswadde.

3 Abagamba nti, “Kasonso,” badduke nga bajjudde ensonyi.

4 Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!”

5 Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga; oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe ondokola, Ayi Mukama, tolwa!

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate