Zabbuli 67
BIB1 Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go.
2 Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
4 Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
6 Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7 Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.
