Menu

Zabbuli 63

BIB

1 Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya n’omutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ng’ali mu nsi enkalu omutali mazzi.

2 Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.

3 Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga.

4 Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.

5 Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.

6 Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.

7 Olw’okuba ng’oli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.

8 Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.

9 Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa, baliserengeta emagombe.

10 Balisaanawo n’ekitala; ne bafuuka emmere y’ebibe.

11 Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate