Menu

Zabbuli 6

BIB

1 Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo.

2 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.

3 Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

4 Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.

5 Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

6 Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange n’omutto ne gutoba.

7 Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

8 Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.

9 Mukama awulidde okwegayirira kwange, n’okusaba kwange akukkirizza.

10 Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate