Menu

Zabbuli 53

BIB

1 Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo; tewali n’omu akola kirungi.

2 Katonda atunuulira abaana b’abantu ng’asinziira mu ggulu, alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera era abamunoonya.

3 Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali n’omu.

4 Aboonoonyi tebaliyiga? Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere; so tebakoowoola Katonda.

5 Balitya okutya okutagambika; kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be. Baliswazibwa kubanga Katonda yabanyooma.

6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni, Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be, Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate