Menu

Zabbuli 4

BIB

1 Bwe nkukoowoola onnyanukule, Ayi Katonda wange omutuukirivu. Bwe mba mu nnaku, onnyambe. Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

2 Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?

3 Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera. Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

4 Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire, mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.

5 Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde; era mwesigenga Mukama.

6 Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama, otumulisize omusana gw’amaaso go.”

7 Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

8 Nnaagalamira ne nneebaka mirembe; kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate