Menu

Zabbuli 30

BIB

1 Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama, kubanga wannyimusa; n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.

2 Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n’omponya.

3 Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe, n’omponya ekinnya.

4 Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be; mutendereze erinnya lye ettukuvu.

5 Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.

6 Bwe namala okunywera ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”

7 Ayi Mukama, bwe wanjagala, wanyweza olusozi lwange; naye bwe wankweka amaaso go ne neeraliikirira.

8 Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama; ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.

9 “Kingasa ki bwe nzika mu kinnya ne nzikirira? Enfuufu eneekutenderezanga n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?

10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire; Ayi Mukama, onnyambe.”

11 Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.

12 Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga. Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate