Menu

Zabbuli 26

BIB

1 Onnejjeereze, Ayi Mukama, kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa; nneesiga ggwe, Ayi Mukama, nga sibuusabuusa.

2 Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese; weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.

3 Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mu mazima go mwe ntambulira.

4 Situula na bantu balimba, so siteesaganya na bakuusa.

5 Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi; so situula na bakozi ba bibi.

6 Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango; ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;

7 ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza, olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

8 Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama, kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.

9 Tombalira mu boonoonyi, wadde mu batemu,

10 abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi, era abali b’enguzi.

11 Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa; nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 Nnyimiridde watereevu. Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate