Menu

Zabbuli 24

BIB

1 Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna, n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.

2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, n’agizimba ku mazzi amangi.

3 Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?

4 Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere.

5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa, n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.

6 Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya, Ayi Katonda wa Yakobo.

7 Mweggulewo, mmwe bawankaaki! Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda, Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.

8 Kabaka ow’ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza, omuwanguzi mu ntalo.

9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki, muggulwewo mmwe enzigi ez’edda! Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.

10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate