Menu

Zabbuli 149

BIB

1 Mutendereze Mukama! Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

2 Isirayiri asanyukirenga eyamutonda; n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!

3 Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina, bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.

4 Kubanga Mukama asanyukira abantu be, n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.

5 Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino; bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

6 Batenderezenga Katonda waabwe, bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,

7 bawoolere eggwanga, babonereze n’amawanga,

8 bateeke bakabaka baago mu njegere, n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,

9 babasalire omusango ogwabawandiikirwa. Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna. Mutendereze Mukama.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate