Menu

Zabbuli 110

BIB

1 Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo. ”

2 Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni; olifuga abalabe bo.

3 Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo ng’ekiseera ky’olutalo kituuse. Abavubuka bo, nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu, balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

4 Mukama yalayira, era tagenda kukijjulula, yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

5 Mukama anaakulwaniriranga; bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.

6 Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza, n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.

7 Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo, n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate