Menu

Zabbuli 11

BIB

1 Mu Mukama mwe neekweka; ate muyinza mutya okuŋŋamba nti, “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?

2 Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe egy’obusaale, balase abalina omutima omulongoofu.

3 Emisingi nga gizikirizibwa, omutuukirivu ayinza kukola ki?”

4 Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana b’abantu.

5 Mukama akebera abatuukirivu naye omutima gwe gukyawa ababi, n’abakola eby’obukambwe.

6 Ababi alibayiwako amanda ag’omuliro; n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.

7 Kubanga Mukama mutuukirivu era ayagala eby’obutuukirivu; abo abalongoofu be balimulaba.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate