Menu

Zabbuli 100

BIB

1 Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.

2 Muweereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.

3 Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

4 Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze n’okutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye.

5 Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate