Menu

Zabbuli 1

BIB

1 Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, era atayimirira mu kibiina ky’ababi, newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.

2 Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.

3 Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga, ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo, n’ebikoola byagwo tebiwotoka. Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

4 Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo. Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.

5 Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango; newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

6 Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu, naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate