Menu

Yeremiya 47

BIB

1 Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:

2 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono, galifuuka omugga ogwanjaala. Galyanjaala ku nsi ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu. Abantu balikaaba; bonna abali mu nsi baliwowoggana.

3 Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe era n’okuwuuma kwa nnamuziga, bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe, emikono gyabwe gya kulebera.

4 Kubanga olunaku lutuuse okuzikiriza Abafirisuuti bonna, n’okusalako bonna abandisigaddewo abandiyambye Ttuulo ne Sidoni. Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.

5 Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga. Asukulooni alisirisibwa. Ggwe eyasigala mu kiwonvu, olituusa ddi okwesalaasala?

6 “ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba, obudde bunaatuuka ddi owummule? Ddayo mu kiraato kyo sirika teweenyeenya.’

7 Naye kiyinza kitya okuwummula nga Mukama y’akiragidde, ng’akiragidde okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate