Menu

Koseya 14

BIB

1 Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri. Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.

2 Mudde eri Mukama nga mwogera ebigambo bino nti, “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, otwanirize n’ekisa, bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.

3 Obwasuli tebusobola kutulokola; Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo. Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’ nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe, kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”

4 Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi, ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula. Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.

5 Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri: alimulisa ng’eddanga, era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.

6 Amatabi ge amato galikula; n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni, n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.

7 Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye, era alibala ng’emmere ey’empeke. Alimulisa ng’omuzabbibu, era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.

8 Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo? Ndimwanukula ne mulabirira. Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.

9 Abalina amagezi bategeera ensonga zino, era abakabakaba balibimanya. Amakuba ga Mukama matuufu, n’abatuukirivu bagatambuliramu, naye abajeemu bageesittaliramu.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate